Lynda Ddane
Quick Facts
Biography
Lynda Uwamahoro Ddane, amanyiddwa nga Lynda Ddane, ye DJ omunayuganda omukyala, aweereza ku leediyo, era omuweereza wa TV. Lynda Ddane y'omu ku bantu ab'aatikivu ku miktu gy'omutimbagano era nga y'akiikirira Airtel.
Ebyafaayo n'okusoma
Lynda Ddane yazaalibwa 25 Ogwekkumi 1994. Yasomera ku Makerere University.
Emirimu
Omulimu gw'oku ttivvi
Lynda Ddane yatandika omulimu gwe ku Urban Television ng'ayanjula pulogulaamu eyitibwa Campus 101 nga taneegatta ku UBC television gyeyali omu kubakola pulogulaamu eya Jam ne Calvin the entertainer. Yaleka omulimu gwe mu UBC n'asalawo essira okuliteeka ku kubeerayoutuber nga taneegatta ku NTV Uganda ng'omu ku baweereza aba pulogulaamu NTV The Beat ne Daggy Nice. Okuva mu 2023, y'omu ku baweereza NTV dance party.
Omulimu gw'oku leediyo
Lynda Ddane yakolako ku Radio City, Uganda nga yemwanjuzi wa pullogulamu ey'okumakya bweyali tanavaayo kugenda ku KFM gy'akolera pulogulaamu eya Da Hook.